Skip to content Skip to footer

Abaali abakozi ba Crane banka sibaakusasulwa.

Bya Ruth Anderah.

Akulira Banka enkulu eye gwanga  Prof.Tumusiime Mutebile aliko ebaluwa gyawandiise nga ategeza nga okugobwa kw’abaali abakozi ba crane bank  abasuka mu 400 bwekwakolebwa mu makubo amatuufu.

Eno ebaluwa egiwandiikidde abaaliko abakozi ba bank eno abaludde nga beewera okugenda mu kooti, kyoka mu baluwa eno abagembye nti badembe okukola kyebaagala ,banka neetegefu okwewozaako mu kooti.

Kinajukirwa nti nga 23 October  bano baawandiikira banka  enkulu nga bagitegeeza nga bwerina enaku 45 okukola ku nsonga zaabwe ez’okubawa obuwumbi 48 zebabanja oba sikyo bagenda mu kooti.

Kati bano ebaluwa ebawereddwa ebakakasizza nga bwebalina okuva ku nsonga eno.

Leave a comment

0.0/5