Skip to content Skip to footer

Eyasobya ku w’emyaka 12 naamusiiga mukenenya aggaliddwa

BY SIMON PETER EMWAMU.

E Soroti kooti enkulu eriko omusajja wa myaka 28  gweggalidde emyaka 9 nga ono bamulanze kusobya ku mwana wa myaka 12 namusiiga mukenenya ku kyalo Osungur mu district ye Amuria district.

Bwabadde asala omusango guno, omulamuzi Justice Anthony Oyuk Ojok, atuddemu ku lwamunne David Batema, agambye nti omusajja ono James Epunu ekikolwa kyeyakola tekigambika kubanga nebweyakimanya nti mulwadde yagenda mu maaso naasobya ku mwana ono atalina musango.

Obujulizi obuleteddwa bulaze nga Epunu, 28 ono bweyadda ku kaana kano nakasobyako nga 23 September 2016 bazade baako bwebaali bagenze okukima.

 

 

 

 

Leave a comment

0.0/5