Bya Tom Angulin.
Waliwo alipoota efulumiziddwa ku nywa y’omwenge mu gwanga nga eno eraze nga banna Uganda ebitundu 47% eky’okunywa omwenge bwebagufudde omulimo.
Kuno okunonyereza kwakoleddwa aba Uganda Alcohol Policy Alliance nga bano bakakasizza nga bannayuganda abasinga bwebatwala omwenge nga eky’okunywa ekya bulijjo, era nga bakiraba nga engeri yokwewumuzaamu ne banaabwe.
Bweyabadde atongoza alipoota eno minister akola ku by’obulamu Dr Ruth Aceng yagambye nti abantu ebitundu 30 % abali e e butabika ebibatawanya byekusa ku butamiivu.