Bya Ben Jumbe.
Waliwo nabbambula w’omuliro asanyizawo akazinga ku kyalo Bujumba wano e Kangala, okukakana nga ebintu byabukadde bisanyeewo.
Twogedeko n’akulira Red Cross e Kalangala Ibrahim Ssenyonga, nagamba nti omuliro guno gukutte ku saawa 8:30 ezekiro era nga gusanyizawo amayumba agasoba mu 40.
Ono agamba nti situgaanye mpaawo Muntu afudde , naye abantu abasoba mu 150 basigadde tebalina wakusula.
Ono agamba nti okunonyereza okusooka kulaze nga bwewaliwo omuntu eyabadde afuweeta sigala, omuliro negulandira okwo.