Bya Ritah Kemigisa
Police ye Jinja eriko abafumbio begalidde ku byekuusa ku butemu obwakolebwa ku mukazi 30 Agnes Nampijja, gyebuvuddeko.
Omugenzi yali akwata snsimbi mu baala emu mu Town Council ye Njeru, wabula yatemulwa omulambo nebagusuula mu kabira.
Omqwogezi wa poliisi mu gwanga Assan Kasingye ategezeza banamwulire nti Joseph Ntale nga yeyali nannyini baala eno akwatiddwa lwa kulaggajjalira mukozi we.
Kasingye ategezeza nti Nampijja lwefa, yali akubidde ababiri bano essimu bamuyambe kubanga yali wabweru songa enkuba yali efukumuka, naye tebamuyamba.
Bano bagaliddwa ku poliisi ye Nalufenya ngokunonyereza kugenda mu maaso.