By aMoses Kyeyune
Akakiiko ka Parliament akakola ku by’amateeka lwekadamu okukola emirimo gyako , nga kano kekawulira ebirowoozo by’abantu ku bago ly’eteeka ely’okujja ekomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Akakiiko kano akakulirwa omubaka wa West Budama Jacob Oboth Oboth kasuubirwa leero okuwayaamu ne ssabaminister wa uganda Dr Ruhakana Rugunda, kko n’akulira oludda oluvuganya gavumenti mu parliament Winnie Kiiza.
Bino webigidde nga banna-NRM baakasindika abakulu mu kibiina kino okugenda beebuza ku bantu ku nsonga y’ebago lino