Skip to content Skip to footer

UPDF yeganye ebyokuza ew’Omusinga

KakurunguAmagye ga UPDF geganye ebyokugyayo abajaasi ababadde bakuuma omusinga wa  Rwenzururu.

Kino kidddiridde okulwanagana wakati w’abajaasi ba UPDF n’abakuumi b’obusinga ab’enono wiiki ewedde.

Kati omwogezi w’amagye ga UPDF  ow’ekibinja ekyokubiri Major Ronald Kakurungu ategezezza nti amagye okukuuma omusinga buyinza bwebalina okuva mu ssemateeka w’eggwanga ,kale nga tebayinza kumala gavaayo bwebatyo.

Ono agamba nti baasisinakanyemu n’omusinga  nebateesa  ku nsonga z’ebyokwerinda n’okulaba engeri abajaasi ba UPDF gyebanakolaganamu n’abakuumi b’enono okwewala obukuubagano gyebujja.

Leave a comment

0.0/5