Skip to content Skip to footer

UNEB yakwawula ebigezo by’amasomero ga gavumenti

UNEBAbabaka abatuula klu kakiiko ka parliament ak’ebyenjigiriza bonna basazewo bukuyege nebalagira ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya UNEB okutandika okwawula ebinavanga mu bigezo by’amasomero g’obwananayini n’agagavumenti.

Kinajukirwa nti bano bazze bemulugunya ku ky’okugatta ebiva mu bigezo by’amasomero gonna nga bagamba tekiraga bulungi ngeri masomero ga gavumenti gyegaba gakozemu.

Abamu ku babaka bano abatuula ku kakiiko kano okuli sylivia Namabide ne Joseph ssewungu nabalala bakalambide , nebategeeza nti okwawula ebigezo by’amasomero gano kyakuyamba gavumenti okulondoola ensimbi z’eteeka mu masomero gaayo.

Leave a comment

0.0/5