Kyadaaki police ekakasizza nga bw’ekutte era n’egalira Dr col Kiiza Besigye nga mukiseera kino ali ku poliisi ye Naggalama.
Besigye abadde ayoleklera ekitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, kyoka nga awerekerewako ebbiina ly’abantu.
omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nti Besigye ono baamulabuliddewo ku ky’okutambula n’abantu abangi , kyoka kino nakiwakanya.
Mukaseera kano ali Naggalama ku poliisi , era nga wakuvunanibwa ogwokutambula n’abantu abangi nga tasabye lukusa lwa poliisi