Skip to content Skip to footer

Abakulu ba district ye Masaka bazize olukiiko lw’ebeyitidde

Bya Gertrude Mutyaba

Abakungu b’e Mengo okuva mu kitongole ekya Buganda Land Board bakonkomalidde ku mbuga y’e Ssaza e Buddu oluvannyuma lwokuyitibwa abakulembeze ba district ye Masaka okubanjulira alipoota eyava mu kupunta ettaka lya Kabaka mu Municipaali ye Masaka, kyokka nebatalabikako.

Bano babadde bakulembeddwamu Omwami Juma Bashir Kizito nga yaavunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu n’okunonyeza mu Buganda Land Board.

Bano bakanze kulinda ngabakulu ku district tebalabikako.

Omumyuka wa pokino owokubiri Abdullah Kato, yoomu ku babadde bazze okwetaba mu nsisinkano eno.

Abatuuze abayitibwa mu lukiiko luno bakukkulumidde abakulembeze baabwe, nebalumiriza ne ssentebbe wa district Jude Mbabaali nti akozesebwa mu kwagala okuwamba ettaka lya gavumenti.

Wabula tewali nsonga ewereddwa lwaki abakulu tebalabiseeko mu lukiiko bbo benyini lwebayise.

Leave a comment

0.0/5