Skip to content Skip to footer

Abakozi b’omugagga 3 battiddwa lwa nkayana ku ttaka

GOMBA

Bya Sadat Mbogo

Poliisi mu district y’e Gomba etandise okunonyereza ku kitanudde abatuuze okuva ku byalo Kikooza, Kitemu ne Nkwale mu gombolola y’e kyegonza okulumbye abakozi b’omugagga Peter Wasswa abajja okukuuma ettaka eririko enkaayana nebabakuba okukkakkana nga basatu bafiiriddewo n’ebisolo okuli ente, embizzi, embuzi n’embwa nebabitemaatema nebifa.

Bino byonna bibaddewo ngabatuuze balumiriza omugagga okwagala okubasenda ku ttaka lyebamazeeko emyaka n’ebisiibo eriweza yiika 600.

Abattiddwa kuliko Talik Ssentongo, Ronald Tamale ne Vincent Isabirye, ngomugagga Waswa yabaggye Kireka mu Wakiso okubaleeta okubaako emirimu gyebamukolera nga kwekuli n’okukuuma ettaka lye obutasaalimbirako muntu yenna.

Emirambo gyonna polisi ejitutte mu gwanika ly’eddwaliro e Gombe mu district y’e Butambala, okwongera okwekebejjebwa n’ebisolo ebittiddwa bitereddwa ku kabangali ya police okutwalibwa ku kitebe kya police e Kanoni.

Police eganye okubaako ne kyeyogera ku bibaddewo byonna wabulanga tukitegeddeko nti abantu 5 bakwatiddwa bayambeko mu kunonyereza.

Leave a comment

0.0/5