Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ky’ekibiina kyamawanga amagatte ekirera ababundabunda, ekya UNHCR kigamba nti ddala basanze okusomozebwa okukumira abaana ababundabunda mu masomero.
Wabula kino bakitadde ku ssente entono ezibaweebwa obukadde bwa $ 330 eri ebyenjigiriza nga zikola 35% ku mbalirir yabwe awamu obukadde bwa $ 900.
Akulira ekitrongole kino mu Uganda Joel Boutroue agambye nti abaana ba primary 30 % naba secondary 85% bawanduka dda mu masomero.
Uganda erina emponzi akakadde 1 nemitwalo 30, ngokusinga bakazi nabaana, abava mu mawanga agenjawulo okuli South Sudan ne Democratic republic ya Congo.