Bya Malikh Fahad
Poliisi e Masaka etandise okukonyereza ku kabenje akafiriddemu, masheeka owerinnya mu kitundu kino.
Sheik Ssengendo Mustapha Twaibu atomeddwa emmotoka kika kya Toyota Pro-box namba UAS 574/M bwabadde avuga pikipiki ye namba UDH 483/N ngasala ekkubo.
Akabenje kano kagudde okumpi newoboleza emmotoka ku luguudo lwa Buddu Street mu munispaali ye Masaka.
Omugenzi era abadde musomesa ku ssomero lya Masaka Islamic Center P/S.
Omwogezi wa poliisi mu district ezobwagagavu bwe Masaka Paul Kangave akaksizza akabenje kano.
Agambye nti omuyiggo ku mugoba we mmotoka ekoze akabenje kano.