Bya Sam Ssebuliba

Police eriko enkyukakyuka zeekoze mu basajja baayo abawerera ddala 88, nga bakyusiddwa nebasindikibwa mu bifo ebyenjawulo.
Abamu bakyusiddwa kuliko Patrick Onyango ngakomezeddwawo ngomwogezi wa police mu Kampala nemiriraano.
Abalala abakyusidwa kuliko John Mwaule, agenze mu district Rukiga.
Nyangoma Grace agiddwa ku Old Kampala natwalibwa e Paidha ate Byarugaba Patrick natwalidwa mu district ye Kasese okuva e Mubende gyabadde.
Bino bigidde mukadde ngabadde aduumira police Gen Kale Kaihura yakagobwa ku mirimo