Skip to content Skip to footer

Abagaba ensigo bazireeta kikerezi

Bya Ivan Ssenabulya

Omukubiriza wa district ye Mukono Emmanuel Mbonye awanjagidde ekitongole kya Operation Wealth Creation okwanguyanga okutuusa ensigo eri abalimi naddala mu budde buno obwokusiga.

Ono agamba nti ensigo okulwawo okutuuka eri abalimi kiviraako okusiga ekikerezi era nekivaako enjala mu bana-Uganda ate noluusi byebassize obutamera.

Mbonye asabye gavumenti okuddamu okutunuliira enkola yemirimu mu kitongole kino, okukakasa nti ddala balwanyisa obwavu.

Leave a comment

0.0/5