Bya Sam Ssebuliba
Akakiiko kebyokulonda kalangiridde omutemwa gwensimbi ezetagibwa, okutegeka okulonda kwa bonna okwomwaka 2021.
Bwabadde ayogerera mu kutongoza enkola enagobererwa mu kwetegekera okulonda, eya 2020/21 Omuwandiisi wakakiiko kebyokulonda Sam Rwakojo alangiridde nti betaaga obwumbi 868 nomusobyo okutambuza emirmu mu wofiisi zaabwe ezenjawulo ezibuna.
Kuno kuliko emirmu egyabulijjo, okusasula emisaala gyabakozi, nebiralala.
Okweyongera kwemiwendo mu mbalirira, kitereddwa ku kweyongera kwazi district okuva ku 112 nga bwegwali mu 2016 okutukira ddala ku 144 omwaka 2021 wegunatukira.
Ono agambye nti nabalonzi beyongedde okutukira ddala ku bukadde 19.
Kati akakiiko kebyokulonda kasaby gavumenti ebawe ensimbi zino ezetagibwa.