Skip to content Skip to footer

Ababbi b’emmwanyi bayongedde e Bukomansimbi

coffeePoliisi ye  Kibinge mu disitulikiti ye  Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’ababbi abatanaba kutegerekeka abaalumbye ebyalo ebyanjawulo nabanyagulula abatuuze.

Ssentebe w’egombolola ye Kibinge Sowedi SSerwadda agamba ababbi bano okusinga banyaguludde sitoowa z’emmwanyi.

Omu ku basinze okukosebwa ye  Patrick Kibirige gwebabbyeko ensawo z’emmwanyi 20 nga ne Patrick Sseruyange bamubyeko emmwanyi ezibalirwamu obukadde obusoba mu 2.

Ssentebe Sserwadda agamba batebereza okuba nga  ababbi ababatigomya bava Masaka ne Kalungu.

Kati abasuubuzi basabye poliisi eyongere ku nnawuna zaayo okukendeza ku bubbi bw’emmwanyi.

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Ibin Ssenkumbi akakasizza obubbi buno n’ategeeza nga okunonyereza bwekugenda mu maaso ku nsonga zino

Leave a comment

0.0/5