Amasasi ganyoose ku poliisi ye Bukomansimbi omusibe bw’atolose mu kaduukulu ka poliisi.
Omusibe onio ategerekeseko erya Edward poliisi yamutasiiza ku batuuze abaabadde baagala okumutta oluvanyuma lw’okumukwata n’emmwanyi enzibe.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Ibin Ssenkumbi agamba omusajja ono baamutadde mu kaduukulu akawufu ku balala kubanga y’abadde atonyolokoka musaayi nga yetaaga okujanjabibwa.
Wabula kabbira ono olwafunyemu amaayi n’amanyuka n’empingu ku mikonio era poliisi egezezzaakio okumuwerekeza amasasi mu bbanga wabula neyeyokya ensiko era n’abulawo.