Gavumenti yakuno esabiddwa okwongera okubangula bekikwatako ku nsonga z’ettaka okusobola okulwanyisa enkaaya z’ettaka mu ggwanga.
Ab’ekibiina ekilwanirira obwerufu ekya Transparency International Uganda bagamba osanga kino kinayamba ankaayana zino okukkakana.
Mu lukungaana lwakubye nebekikwatako ku by’ettaka e Mukono, omukwanaganya w’ekibiina kino Paddy Auyo era asabye nebanaansi babojiwaze ku nsonga ezikwata ku by’ettaka.
Agamba abantu bangi batulugunyizibwa wabula tebamanyi wakuddukira lwabutamanya.