Amadda g’omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze okuva mu ddwaliro e South Africa gongezeddwayo.
Nambooze abadde alina kudda olunaku lwaleero okuva mu kibuga Jihannesburg.
Wabula omuyambi w’omubaka ono Namugera Robert agamba abasawo baawadde Nambooze amagezi agira alindako embeera ye eterere olwo asobole okutambula obulungi.
Nambooze yaddusibwa mu ggwanga lya South Africa oluvanyuma lw’okufuna okulumizibwa mu lubuto.