Bya Ben Jumbe.
Ekitongole ekikola ku by’emiwendo ekya Uganda bureau of statistics kikoze okunonyereza nekizuula nga divison ye Nakawa yekiza amayumba ag’okupangisa n’okugula agasinga okuba ku beeyi eyawansi.
Okunonyereza kuno kugenderedwamu kumanyisa bantu abaagala okugula, kko n’okupangisa amanyimba wa webalina okugenda nga banoonya amayumba.
Bwabadde afulumye ebizuuliddwa Imelda Atai nga ono akola mu kitongole kino agambye nti ku Nakawa kuddako Wakiso , Kawempe, Makindye n’amasekati ga Kampala .