Poliisi ye Kamuli eyodde abantu 60 abakeera mu birabo by’omwenge okutamiruukuka.
Bano poliisi amakya gleero ebakedde nga misa nga era bano baateredde dda bawunzika ndeku.
Mu bakwatiddwa kubaddeko n’abaana b’amasomero 30 nga bano okunywa omwenge kubasinga ebitabo.
Akulira ebikwekweto hya poliisi e Kamuli Awuyo morris agamba abantu tebakyakola bakeera kukongojja omumbejja Namaalwa.
Agamba abawala abakwatiddwa bakukola bulungi bwansi
Ono asabye bazadde b’abaana bano okunona abaana baabwe ku poliisi era banyonyole lwaki abaana bano tebasoma.