Poliisi ku nsalo mu kitundu kye Elegu ekyakola bukubirire okulaba nga egyawo ekibinja ky’abantu ekyokubiri bebanunudde okuva mu ggwanga lya South Sudan olunaku lweggulo.
Omwogezi w’amagye ga UPDF LT col Paddy Ankunda agamba abantu 4500 bebanunuddwa okuva mu ggwanga lya South Sudan.
Kati omwogezi wa poliisi okuva mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema agamba bakolagana n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala okusengejja abo bonna abayingira Uganda nga bazuula abo abalina ebyokulwanyisa n’amawanag abalala gyebava.
Agamba ekibinja kino kyabaddemu abakooye bangi n’abalwadde abayisiddwa mu bbanga sso nga waliwo omukazi eyafudde nga azaala.
Mukiseera kino amagye ga UPDF , poliisi wamu n’abamakomera bazzeyo mu south Sudan Okununula ekibinja ekyokusatu abakyakwamidde mu ggwanga eryo.
