Bya Shamim Nateebwa
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mwenyamivu olw’abasibe abayitiridde okutulugunyizibwa mu buduukulu gyebaba basibiddwa.
Bw’abadde agulawo olukiiko lwa 24, mukwata ddamula ategezezza ntio okutulugunya abasiobe kabonero akalaga obunafu mu bitongole ebikuuma ddembe nti tebalina bukugu bukola mirimu gyabwe.
Katikkiro agamba poliisi etendekebwa kusoya bakwate bibuuzo ebiyamba mu misango wabula ssikubatulugunya ekimenya amateeka era n’ategeeza nti yadde nga pulezidenti Museveni yavumirira okutulugunya okunonyereza kwetagisa okusobola okukangavvula abakuli emabega.