Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda kutongoza ekijukiro ekirala, okujukira abantu abafiira mu lutalo lwe Luweero.
Kino kyakusimbibwa ku lunaku olw’okubiri nga uganda egyukira olunaku lw’abazira.
Bwabadde ayogera eri banamawulire omwogezi wa government Ofwono Opondo agambye nti ekijukiro kino kyakusimbibwa mu kitebe kye Gombolola ye Dwaniro .
Emikolo gy’olunaku lw’abazira kyakubeera ku somero lya Katwe primary mu district ye Kiboga.