Pulezidenti Museveni asuubizza nga gavumenti bw’egenda okutandika okukozesa tekinologiya w’omulembe okulwanyisa obuzzi bw’emisango
Ng’ayogerako eri eggwanga, Pulezidenti agambye nti bagenda kussa kamera ku nguudo z’omu kibuga okwetoloola eggwanga lyonna okusobola okulondoola abazza emisango.
Ono era atenderezza aba poliisi olw’okukuuma emirembe ku mikolo gy’abajulizi egyakaggwa
Ku byenguudo, pulezidenti agambye nti musanyufu nti enguudo ezisinga zizze zikolebwa nga kati bazze ku ndala okuli okugaziya olwa Northern Bypass, okuzimba olwe Namugongo Kyaliwajjala, Seeta Namugongo n’endala nyingi.
yye Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga agamba nti wabadde okulongooka mu nteesa y’ababaka mu lutuula oluwedde
Ng’ayogerako eria babaka n’abakulu abeetebye mu lutuula lwa palamenti , pulezidenti mw’asinzidde okwogererako eri eggwanga, Kadaga agambye nti basobodde okuyisa amabago agawerera ddala 22 okuva ku mabago 19 agayisibwa mu lutuula lw’okusatu
Ono era agambye nti n’amateeka g’ebweru amalala
Kadaga era alaze essanyu nti olutuula lw’okuna luweddeko nga tewali mubaka afudde yadde bangi balwadde.
Kyokka era Kadaga yenyamidde olw’ababaka abatayagala kuteesa nga basiiba mu byaalo neberabira nti omubaka wa palamenti tatuula mu kyaalo wabula mu palamenti okusobola okuyisa amateeka.