
EKayunga, abantu basatu beebawandiisiddwa okukiikirira ebifo ebitali bimu mu palamenti.
Asoose okwewandiisibwa ye Mubaka we Ntenjeru ey’obukiikaddyo Patrick Nsanja owa NRM wabula nga negweyawangula mu kamyufu Fred Baseke naye awandiisiddwa.
Omulala awandiisiddwa ye George Wilson Nsamba Kumama,ng’ono yayitamu okukwatira NRM bendera oluvannyuma lw’okuwangula minisita w’abakadde Sulaiman Madaada mu Kamyufu
Wabula ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti Minisita Aidah Nantaba olunaku lwenkya lwagenda okwewandiisa avugannye ne Juliet Nalunga eyayitawo mu kamyufu.
Kiddiridde kkooti enkulu e Jjinja okusazaamu envumbo ebadde emuteereddwaako,era nga kati abawagizi be bali mu kwesunga.