
E Mukono, abagaala okukiika mu palamenti abasoba 20 beebawandiisiddwa nga muno mwemubadde n’abawagulwa mu kamyufu ka DP ne NRM.
Ku bano kuliko Peter Bakaluba Mukasa, Francis Lukooya Mukoome, Betty Nambooze, Abdallah Kiwanuka minisita Ronald Kibuule n’abalala.
Ng’ayogerako eri bannamauwlire oluvanyuma lw’okukakasibwa, omubaka wa municipaali Betty Nambooze Bakireke yemulugunyizza ku bavubuka ba NRM b’agamba nti baatandise dda okutataaganya enkungaana ze.