
Amyuka omubaka wa Bugirimaani mu Uganda asabye abapoliisi okukola emirimu gyaabwe n’obukugu okwewala okulabibwa obubi.
Kolhendoer Fer Petra agambye nti poliisi yetaaga okussaamu ekitiibwa kyokka ng’erina kusooka ku ky’ewa.
Omukulu ono okuva mu Bugirimaani okwogera bino abadde awaayo emmotoka,n’ebirala ebikozesebwa poliisi okubayambako okunonyereza obulungi ku misango.
Kolhendoer agambye nti yadde mulimu gwa poliisi okukuuma bannansi okulaba nti eddembe lyaabwe terityoboolwa, nabo benyini balina okubeera omumuli.
Bino bizze nga poliisi nakati ekyalumbwa ku ngeri gyeyayambulamu omukyala Zainab Naigaga bwebalai bamukwata