Skip to content Skip to footer

Anesimbawo yekka ng’asiibula NRM

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera
File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera

Abakulira ekibiina kya NRM balabudde abo bonna abagenda okwesimbawo nga abatalina kibiina nti baba bavudde mu kibiina.

Ssabawandiisi w’ekibiina kino  Lumumba Kasule  okulabula kuno akutegezezza bannamawulire n’asaba abaawanguddwa mu kamyufu okukkiriza okuwangulwa bagende mu maaso n’okukole emirimu gy’ekibiina.

Ategezezza nga bwebataddewo dda abagenda okutunula mu kwemulugunya kwonna okwavudde mu kamyufu nga wano alina ekimuluma walina okukigirayo sso ssi kwesimbawo nga atalina kibiina.

Bino webijidde nga abasinga ku baawanguddwa mu kamyufu baagala kwesimbawo ku bwanamunigina nga balumiriza nti obuvuyo bwasusse mu kamyufu.

Mungeri yeemu  aba NRM olunaku lwenkya bakutandika okuwandiika abo bonna abagenda okwetaba mu ttabamiruka agenda okubeera mu kisaawe e Namboole.

Nga  1 ne nga 2 November olukungaana lw’abakulembeze b’ekibiina okuva mu bitundu by’eggwanga lyonna lwakutuula okukakasa pulezidenti Museveni nga tannasunsulibwa nga 3 November.

Oluvanyuma bakutongoza manifesito y’ekibiina nga 5 November era bakube olukungaana nga 9 e Luweero.

Leave a comment

0.0/5