Bya Ruth Anderah.
Wano e Gulu omulamuzi wa kooti ento abadde akola ku musango gw’okulya munsi olukwe oguvunaanwa abantu 35 okuli n’ababaka ba Parliament nga ono Yunusu Ndiwana akyusiddwa n’atwalibwa e Iganga kati gyegenda okukolera.
Ndiwalana akyusiddwa n’abalamuzi abalala 46 ab’edaala erisooka n’abawandisi ba kooti.
Omuwandiisi wa kooti omukulu Esta Nambayo abalamuzi abakyusidwa kuliko abalamuzi ab’edaala erisooka 16 akalondebwa.
Ono agambye nti bano bakyusiddwa okuggibwa mubifo ewatabadde misango , nebatwalibwa mu bifo omuli emisango egyetuumye.