Skip to content Skip to footer

Omutanda alabudde abavubuka ku buveera bwa waragi

Bya Ivan Ssenabulya

Empologoma ya Buganda Sabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, ajjukiza abavubuka okwetanira ennyo okukkola bulungibwansi, mu bitundu byabwe.

Omutanda agambye nti abavubuka balaina okukuuma obuyonjo nokukuuma obulamu bwabwe,  nga wano alabudde neku buveera bwa waragi bwebekatankira babuveeko, okusobola okukuuma obulamu bwabwe nga bulungi kulwebiseera ebyomumaaso.

Ssasajja okwogera bino abadde ku mikolo gyamefuga ga Buganda nga gyagatiddwa okukuza Bulungibwanis ne gavumenti ezebitundu, mu gombolola ya Ssabaddu e Ntanjeru mu ssaza lye Kyaggwe.

Kati Beene era ku bigenda mu maaso mu gwanga, agambye nti nga Buganda babiraba, naye nabagumya banywere.

Yye Kattikiro mu kwogera ajjukizza abakulembeze ababwansi nabantu ba Ssabasajja nti tebalina kulindanga mikolo okulaga obukozi bwabwe nobuyonjo bwabwe.

Ate Ssabasajja asimiddwa olwokusiima  kwe natumbula enkola eya Bulungibwansi nekomawomu bantu.

Minista owa Bulungibwansi nentambula za Beene Owek Mariam Mayanja Nkalubo, ategezezza nti ddala omyoyo gwa Bulungibwansi gukomyewo mu bantu be.

Ssabasajja yakedde kukola dduyiro, okuva mu lubiri lwe e Ntenjeru naddauka mu bitundu ebyetoloddewo, ngabamulabyeko ku makya, libadde ssanyu.

Leave a comment

0.0/5