By Ritah Kemigisa.
Abavuganya government kyadaaki bategeezeza nga bwebakaanyiza ku ky’okutegeka okukubaganya ebirowoozo okwegwanga lyonna , era nga bagamba nti kwetagibwa mu bwangu dala okusobola okutereeza eby’obufizi bwegwanga.
Bwabadde ayogerako ne banamwaulire ku lwabanne eyali president wa UPC Olara Otunnu agambye nti bakaanyiza nti okuteesa kuno kubeera kwamazima, ate nga sikwakusaagiramu.
Ono agambye nti baliko byebakanyizaako byebaagala biberewo gamba nga abantu abalina okuba mu kuteesa kuno,eby’okuteesako n’ensonga endala