Abalwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga tebalinanyo Ssuubi mu palamenti eyekkumi oluvanyuma lwa sipiika n’omumyukawe okudda mu bifo byabwe.
Olunaku olweggulo Rebecca Kadaaga yazze ku kyasipiika awatali amuvuganya ye Jacob Oulanyah n’amegga Mohamad Nsereko ku kyomumyuka.
Kati akulira ekibiina kya Anti-Corruption Coalition Uganda Cissy Kagaba agamba bannayuganda tebasubira kingi kuva mu palamenti eno olwobukulembeze obutakyuka.