Omubaka wa Nakifuma steven Kafeero olunaku olwalero akwanze akakiiko akavunanyizibwa ku kulonda mu kibiina kya NRM empapula ze ez’obuyigirize endala.
Ssekitoleko yagobwa mu kamyufu ka NRM ngalangibwa obutaba n’ampapula za siniya 4 ne siniya 6, wabula oluvanyuma kooti enkulu e Jinja, neragira addizibwe mulwokaano.
Kafeero agambye nti akakiiko kamulagira agende mu kitongole ekivunanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu okukakasa empapula ze, kyagambye nti amaze okukola.
Kafeero era agambye nti amaze okusaba akakiiko ka NRM okumuliyirira ensimbi obukadde 300 ez’okwonona erinya lye.
Wabula ye Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda DR. Tanga Odoi agambye nti ensonga za Kafeero banamateeka ba NRM bebagenda okuzikolako.