Bya Ivan Ssenabulya
Ettendekero lya Uganda Christian University lyakutte kyakubiri mu Universty za African mu mpaka za 2018 Philip Jessup International Law Moot Court Competition ezibadde mu kibuga Washington DC mu gwanga lya America.
Empaka zino zitunuliira nokugezesa ebikwata ku ddembe lyobuntu mu nsi yonna.
Dr. Anthony Kakooza, Dean owa UCU Faculty of Law agambey nti buno bubadde buwanguzi bwenyini, bwebatuseeko nga bakoze bulungi.
UCU lye ttenedekero mu Uganda lyokka eryetabye mu mpaka zino, nga badiridde University of Pretoria, eya gwanga lya South Africa.
Eyasinze ye Colombia Law School mu America, oluvanyuma lwokufuna obubonero 3,209.