Bya Ivan Ssenabulya
Ekifananyi: Kijiddwa mu bikadde
Poliisi ku ttendekero e Makerere ekubye omukka ogubalagala mu bayizi, okubagumbulula bwebakadde okwekugugunga, nga bwebalaliise olwaleero.
Abayizi bagamba nti bagala ensonga zaabwe ezibaluma zikolebweko mu bwangu.
Abayizi 3 okuli Guild President Papa Salim Were bakwatiddwa nga kati, bakumibwa ku poliisi ye Wandegeya.
Bwabadde ayogerako naffe akulira ebyokwerinda ku University e Makerere Enoc Abayine era akakasizza nti waliwo omusirikale omu kabubiddwa ejinja, nga kati ajanjabibwa.
Abayizi bawakanya ekyokwongeza ebisale okwomujjirano, okubulankana kwobubonero bwabwe, okujjawo okusoma kwekiro nebiralala.