
Waliwo ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina kya NRM okuva mu massekati ga Kampala abalumbye ekitebe ky’ekibiina nga baagala okulonda kw’akamyufu kusazibweemu olw’emivuyo egyetobese mu kulonda.
Bano bawagizi ba kansala womu Kisenyi Salim Uhuru nga balumiriza Ahmed Kibedi eyesimbye ku Muntu waabwe okuvuluga okulonda.
Bano kati baagala akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kyabwe kasazemu ebivudde mu kulonda bategeka kulonda kulala.