
Eyali minisita w’ebyenguudo Abraham Byandaala akakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo kamukunyizza ku luguudo olwazimbibwa okuva e Tororo okuyita e Mbale okutukira ddala e Soroti.
Minisita akunyiziddwa lwaki y’alagira obugazi bw’oluguudo luno bukendezebwe okuva ku mita 9 okudda ku mita 6 zokka.
Byandala era bamulumiriza okusuula muguluka kampuni ya Gibbs Africa limited gyeyalina okwebuzaako mu kuzimba oluguudo luno ye n’akola bibye.
Byandala mu kiseera kino akyavunanibwa kukozesa bubi ofiisi ye nga akyali minisita w’ebyenguudo.