Skip to content Skip to footer

URA y’akusoloozanga ebisale mu univaasite

Bya Damalie Mukhaye

Ministry yebyensimbi eragidde ekitongole ekiwooza ky’omusolo mu gwanga, okutandika okusolozanga ebisale byabayizi mu matendekero ga gavumenti aga waggulu.

Omwogezi wa ministry Jim Mugunga agambye nti entekateeka eno egendereddwamu okuzuula emiwendo emituufu gyabayizi mu matendekero ate nensimbi zebabasolozaamu.

Kati Mugunga era agambye nti baazudde nga waliwo abayizi abe mpewo gavumenti bebaddenga esasulira, nayenga tebaliiyo.

Agamba nti bakulu mu matendekero bawa emiwendo emikyamu gavumenti nebawa neismbi ezisukka ku zebatekeddwa.

Kino kyadiridde abakulu ku ttendekero e Makerere okulemererwa okunyonyola gyebuvuddeko, ku kwemulugunya okwalabikira mu alipoota eza ssababalrizi webitabo bya gavumenti.

Wabula amatendekero nago galiko kyegogedde ku ntekateeka teeka ya gavumenti eno.

Omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Makerere Prof Barnabas Nawangwe yye aaniriza entekateeka eno, nti egenda kubawewulako.

Ate academic registrar owa Gulu University Jerry Bagaya nomukiise wa Kyambogo ku council Buruhani Byaruhanga bagambye nti babadde tebanategeera bulungi ku ntekateeka eno, nga tebamanyi na bwegenda kukola.

Ate abaddukanya ettendekero lye Makerere bongezaayo olusoma mu college 3, abasing okukosebwa mu kediimo kabasomesa akakulungula omwezi mulamba, okuva mu January.

Ebigezo ku matabai agsigadde byakutandika nga 4th May, wabula bbo aba Humanities and Social Sciences, Veterinary Medicine, Animal Resources and Bio-security naba School of Law baakutandika nga May 13th.

Omumyuka wakulira ebyenjigiriza e Makerere Prof Umar Kakumba mu bbaluwa gyeyawandiise nga April 25th yagambye nti omumyuka wa ssenkulu Prof Barnabas Nawangwe yeyakola okusaba ku nsonga eno.

Leave a comment

0.0/5