Skip to content Skip to footer

Omuvubuka asse maama we

Bya Magembe Sabiiti

Police mu district ye Kassanda ekutte Yusifu-Samuel ow’emyaka 40 ku bigambibwa nti yakidde maama we Kyakuhaire Dorita ow’emyaka 70 namutta oluvanyuma lwokufuna obutakanya awaka.

Ettemu lino libadde ku kyalo Kyakaseeta mu gombolola ye Myanzi mu district ye Kassanda, nga ssentebe we kyalo kino Ssenabulya Micheal ategezezza ng’omugenzi bwakubiddwa mutabani we ekyuuma ku mutwe nerumalamu amazzi.

Omwogeze wa police mu ttundu tundu lya Wamala Ochom Nobert akakasizza okukwatibw akwomusajja, ono ngaguddwako omusango gwa butemu.

Leave a comment

0.0/5