Abateberezebwa okuba nti beebatigomya abantu be makindye bakubiddwa amasasi agabalese nga bapookya.
Musa Katumba ow’emyaka 29 ne Akiramu Kazibwe owe myaka 19 nga bagambibwa okubeera ku kibinja kya bakifeesi ekitigomya Bannakampala naddala abatuuze be Nabisalu mu divizoni ye Makindye
Bano okkubwa amasasi basangiddwa baliko amaka g’omutuuze gebanyagulula bwatyo omukuumi nababakuba amasaasi mu magulu ne mikono.
Mu kanyolagaano kano omukumi atanaba kutegerekeka naye alumiziddwa era nga awereddwa ekitanda mu ddwaliro wamu na bateberezebwa okuba ababbi.