Bya samuel Ssebuliba.
Olunaku olwaleero etendekro elya Uganda Christian university ligudewo esomero erigenda okusomesa ebyekisawo nga kino kigenderedwamu kugatta tofaali ku by’obulamu bye gwanga.
Esomero lino okusinga ligenda kusomesa eby’okutabula edagala, okulongooosa, nga kwogase nebyokujanjaba amanyo.
Bwabadde ayogerera mu kutongoza esomero lino wano e Mengo,ssabaminisita we gwanga Dr Ruhakana Rugunda agambye nti Uganda kakano yeetaga abasawo, kubanga omusawo omu akola ku balwadde 2500o , songa ekibiina ky’amawanga amagatte kigamba nti omusawo omu alina kukola ku balwadde 500.
Kati ono agamba nti amasomero amalala gagwana gatandike okusomesa abasawo ba doctor kubanga kakano mu Uganda mulimu musanvu gokka