Skip to content Skip to footer

Aba FDC beegasse ku NRM

Waliwo bannakibiina kya FDC okuva mu divizoni ye Lubaga abeegasse ku kibiina kya NRM.

Abavubuka bano bagamba nti tebalina kebafunye mu FDC okuleka embooko.

Bakulembeddwaamu Abbas Mukasa nebategeeza nti babadde beetaba mu kwekalakaasa nebabakwata kyokka nga bavundira mu makomera teri abajjayo.

Bino bizze ng’akutte bendera ya FDC Dr Kiiza Besigye yakategeeza nti abo bannakibiina kye abasala okudda mu NRM banoonya kyakulya naye ng’akimanyi nti baggya kulonda yye.

Leave a comment

0.0/5