Skip to content Skip to footer

Basatu bafudde butwa

Poliisi etandise okunonyereza ku ngeri abantu mwenda aba famire eno gyebaaliddemu obutwa basatu nebafa

Omukaaga bali mu mbeera mbi ddala.

Atwala poliisi ye Bukedi Andrew Kaggwa agamba nti abasatu webatuukidde nga bamaze okufa ate ng’omukaaga baddusiddwa mu ddwaliro lye Budaka ate abalala Mbale

Bano bonna bava mu maka ga Hajji Makanzu Sennono.

Bano obutwa kigambibwa okuba nga babuuliridde mu mmere kyokka ng’eyabubatereeddemu tannaba kutegerekeka.

Kaggwa agamba nti batandise obujulizi obutali bumu okulaba awavudde obuzibu.

Leave a comment

0.0/5