Skip to content Skip to footer

Entesaganya ku Burundi zaakuddamu nga 28

File Photo : Abantu be burundi
File Photo : Abantu be burundi

Wakati nno mu lutalo olunyinyitidde ku mulirwano mu gwanga lya Burundi, gavumenti ya kuno etegezezza nga bwebagenda okutabaganya enjuuyi zombi aberumaruma.

Enteseganya zino zakutandika nga 28 December womwaka guno mu maka gobwa president Entebbe.

Minister webyokwerinda Dr. Crispus Kiyonga ategezezza nti enteseganya zino zakukubirizibwa president wa kuno Yoweri Kaguta Museveni.

Atutegezezza nti ebisimbiddwako amannyo gwekuzza emirembe mu gwanga lino, okutebenkeza ebyenfuna ate nobumu ngegwanga.

Kiyonga akakasizza nti gavumenti ya CNND-FDD abafuga eya Pierra Nkulunziza nabavuganya bakwetaba mu nteseganya zino wano mu gwanga lya Uganda.

Kiyonga era ategezezza nti kavuna kinakanyizibwako omukago gwa Africa namawanga gobuvanjuba okusindika eggye ekkuuma ddembe eryawamu tebajja kulonza lonza nga Uganda bukusibamu ebyanguwa bolekere egwanga lya Burundi okuzza emirembe.

Kino kijjidde mu kiseera ngabantu 90 bebaluguzeemu  mu kulwanagana okwabadde mu kibuga ekikulu Bujumbula akaseera akayise.

Obusambattuko mu Burundi bwabalukawo okuva president  Pierre Nkurunziza lweyalangirira okwesimbawo songa ebisanja bye byali biweddeko.

Leave a comment

0.0/5