
Ab’obuyinza e Buhweju olwaleero baggadde eddwaliro lyaayo okulemesa owa FDC Dr Kiiza Besigye okukyalayo.
Besigye ne banne babadde bakyamyeeko ku ddwaliro lino okubuuza ku balwadde wabula nga basanze eddwaliro lyassiddwaako kkufulu ng’abalwadde bakonkomadde ebweru
Kino kizze nga Besigye yakakyalako mu ddwaliro lye Abim ng’eno gyeyayanikira obuziina bw’eddwaliro eryaali mu mbeera embi ddala
Kino nno kyekyaali kigobezza n’abasawo abamulambuza
Besigye agambye nti nkola ye okutuuka ku buli Muntu nga n’abalwadde mw’obatwalidde kale nga wakusigala ng’akyaalira amalwaliro agatali gamu
Mu ngeri yeemu,
Eyesimbyewo kububwe okuvuganya kubwa president Prof Venasuis Baryamureeba ayambalidde poliisi olwokulinnya eggere mu lukungaana lwe.
Poliisi mu district ye Kapchorwa akawungeezi akayise yalinnye eggere mu lukungaana lwono ngegamba ebyokwerinda byabadde tebitebenkedde.
Baryamureeba yabadde asazeewo okwogerako eri abawagizi be mu lukungaana lwe olusooka ku stage ya BodaBoda ku luguudo lwe Kween mu bitundu bye Sebei.
Ono kyamubuseeko okusanga ekiffo nga kyebulunguluddwa abasirikale.
Wabula omudumizi wa poliisi mu kitundu Gerald Twishime ategezezza nti Baryamuleeba yabadde takeddwa kubeera Kapchorwa.
Yye Baryamuleeba agamba wano yabadde agenda kuyimirirawokko buyimirizi.
Ono yoomu ategezezza nti wakunoonya akalulu nju ku nju kuba ebyokukuba enkungaana tabifunyemu nga bweyali asubidde.