Skip to content Skip to footer

Abaana abasobezebwaako beyongedde

File Photo:Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi
File Photo:Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi

Omuwendo gwabaana abasobezebwako ogweyongera buli kadde mu district ye Lwengo gweralikirizza abakulembeze.

Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango ku poliisi ye Lwengo Ritah Basemera asinzidde mu lukiiko lwabakwatibwako ensonga nategeeza nti obwana obutanetuuka obukakibwa akaboozi bususse.

Agambye ku misango gyokukaka omukwano gyebafunye ku poliisi, ebitundu 60% babadde baana ba masomero ate aga primary.

Ategezezza nti mu mwezi gwomwenda gwokka bafuna emisango 15 nga 9 ku gino abasomesa ate bebebganzikanaga ku bwana bwebasomesa.

Kati omwogezi wa polisi mu kitundu Noah Sserunjogi agamba mweralikirivu olwabazadde abekobaana nebakali bugwagwa obutaloopa abo abasobya ku baana amabujje ensonga nebasalawo okuzimalira wabweru wa kooti.

Leave a comment

0.0/5