Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya agamba nti enkyukakyuuka mu lukalala lwa ba minisita zigendereddwaamu kusiima bawagira kya pulezidenti Museveni kwesimbawo yekka
Olunaku lwajjo pulezidenti yalangiridde enkyukakyuka mu ba minisita nga mu beyasudde kwekwabadde ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi ne minisita akola ku by’ensimbi Maria Kiwanuka
Ng’ayogerako eri bannamawulire , Bukenya agambye nti eky’okulonda Fred Ruhindi nga ssabawolereza kirungi kubanga amateeka agategeera
Ono wabula agamba nti yabadde nsobi okusuula Maria Kiwanuka.
Bbo abavuganya bagamba nti enkyukakyuka zino zaalaze nti pulezidenti Museveni atya Amama Mbabazi
Pulezidenti yalonze ba minisita basatu okuzibikira ekituli kya Mbabazi n’okwongera okwenyweeza mu kitundu kye Kigezi.
Omwogezi wa FDC John Kikonyogo agambye nti kino kigenda kubayamba nabo okwetereeza basobole okwetegekera akalulu ka 2016
Bbo nno abakulembeze okuva e Kigezi bagamb nti tekyandibadde kibi nti bafunye ba minisita mwenda naye kijja kubaleetera ebizibu ng’abantu bababoola
Fr Geatano Batanyenda okuva mu busumba bwe Kabale agamba nti ssi basanyufu n’ebibaddewo nga byonna byakoleddwa lwa Mbabazi
Wabula yye omuwi w’amagezi eri pulezidenti Museveni mu kitundu kino John Bitunguramwe agambye nti kino kigenda kunyweeza ekitundu kyaabwe era nga bakujjamu n’enkulakulana
Bano nga bagamba bati, abasiraamu bajjeeyo ebiso nga beemulugunya ku ngabana ya keeki y’eggwanga.
Omwogezi we Kibuli Sheikh Hassan Kirya agamba nti mu bapya bonna abalondeddwa temuli basiraamu.
Kirya agamba nti abayisiraamu balina omugabo mu ggwanga era nga balina okufibwaako
