Skip to content Skip to footer

Eby’okucanga abaana e Mulago bikyuse- abazadde balimba

Ensonga z’abazadde abalumiriza ab’eddwaliro lye Mulago okucanga omwana waabwe nebabawaamu afudde kyaddaaki zifundikiddwa

Mulago hospital

Alipoota evudde mu ndagabutonde eyakolebwa eraga nti omwana ono ddala wa bazadde bano abemwegaana.

Omwana ayogerwaako yazaalwa n’afa era nga wa Sanyu ne Fred Nyongesa abe Kasubi.

Akulira eddwaliro lye Mulago Byarugaba Baterana agamba nti alipoota gyebakoze eraga nti omwana ono yafiira Kawaala sso ssi Mulago era omukyala yagenda okutuuka mu ddwaliro ng’omwana mufu wajjo

Kati bano omulambo gw’omwana ono oguyise mu mumwezi bagukwasizz bakadde baagwo kyokka nga baguzize

Yye looya w’abazadde b’omwana asabye babaweemu akadde beteereze n’oluvanyuma babeeko nekyebanyega

Yye amyuka omwogezi wa poliisi Fred Enanga asabye bakadde b’omwana okukkiririza mu bivudde mu ndagamuntu

Leave a comment

0.0/5